Babel

The Tower of Babel (Genesis 11: 1-9)

Oluganda (Luganda/Ganda)

  1. N'ensi zonna zaalina olulimi lumu n'enjogera emu.
  2. Awo, bwe baali batambula ebuvanjuba, ne balaba olusenyi mu nsi Sinali; ne batuula omwo.
  3. Ne bagambagana nti Kale nno, tukole amatoffaali, tugookere ddala. Awo ne baba n'amatoffaali mu kifo ky'amayinja, n'ebitosi mu kifo ky'amayinja, n'ebitosi mu kifo ky'ennoni.
  4. Ne boogera nti Kale nno, twezimbire ekibuga, n'ekigo, (ekirituusa) entikko yaakyo mu ggulu, era twefunire erinnya; tuleme okusaasaanira ddala ewala mu nsi zonna.
  5. Mukama n'akka okulaba ekibuga n'ekigo, abaana b'abantu bye bazimba.
  6. Mukama n'ayogera nti Laba, abo lye ggwanga limu, era bonna balina olulimi lumu; era kino kye batanula okukola: ne kaakano tewali ekigenda okubalema, kye baagala okukola.
  7. Kale nno, tukke, tutabuliretabulire eyo olulimi lwabwe, baleme okutegeera enjogera yaabwe bokka na bokka.
  8. Bw'atyo Mukama n'abasaasaanyiza ddala okuva eyo okubuna ensi zonna: ne baleka okuzimba ekibuga.
  9. Erinnya lyakyo kye lyava lituumibwa Baberi; kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw'ensi zonna: n'okuva eyo Mukama n'abasaasaanyiza ddala ensi zonna.

Source: Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli. Endaggano Enkadde n'Empya. The Bible Society of Uganda, Kampala, 1982.

Contributed by Wolfgang Kuhl

Information about Luganda | Phrases | Numbers | Tower of Babel

Tower of Babel in Bantu languages

Bangi, Bemba, Benga, Beti, Bulu, Chichewa, Dawida, Haya, Kamba, Kiga, Kikuyu, Kinyarwanda, Kirundi, Kongo, Koti, Kwanyama, Lamba, Lingala, Lozi, Luba-Katanga, Luganda, Luragooli, Mbunda, Mpongwe, Ndebele, Ndonga, Nkore, Northern Sotho, Nyakyusa, Sango, Sena, Shona, Soga, Southern Sotho, Sukuma, Swahili, Swati, Tetela, Tonga, Tsonga, Tswana, Tumbuka, Venda, Xhosa, Yao, Zulu

Other Tower of Babel translations

By language | By language family

[top]


Green Web Hosting - Kualo

You can support this site by Buying Me A Coffee, and if you like what you see on this page, you can use the buttons below to share it with people you know.

 

Conversations - learn languages through stories

If you like this site and find it useful, you can support it by making a donation via PayPal or Patreon, or by contributing in other ways. Omniglot is how I make my living.

 

Note: all links on this site to Amazon.com, Amazon.co.uk and Amazon.fr are affiliate links. This means I earn a commission if you click on any of them and buy something. So by clicking on these links you can help to support this site.

[top]

iVisa.com